Eddwaliro Ly'e Mayuge Litabudde Abatuuze

0
732

Okuvaako e Mayuge, wabaddewo vvawo mpitewo nga abakungu ba district bawanyisiganya ebisongovu n’omukungu wa Ministry y’ebyobulamu ng’entabwe eva ku kuggalira abasawo abakolera mu ddwaliro ly’e Kigandaalo.
Ekyasinze okunyiiza abakungu ba district be basawo abo okuggalirwa okumala ebbanga eddene mu kaduukulu ka poliisi ekyavuddeko akavuyo mu ddwaliro n’abalwadde okusattira nga tebaliiko ayamba.
Bino byonna byatuukiddwako mu lukungaana olwatuuziddwa okukubaganya ebirowoozo ku byobulamu nga bwebiyimiridde mu district eno.