Embuzi Enzibe Zikwasizza Maama N'aswala
Abatuuze b’oku kibuga Namutumba bawuniikiridde munnaabwe bwakwatiddwa n’embuzi ezabbiddwa ku kyalo mu kiro ekyakeesezza olunaku lw’eggulo.
Ababbiddwako embuzi nga bayambibwako poliisi bakoze omuyiggo ogubatuusizza ewa mutuuze munnaabwe abadde azikwese mu kisibo.