Emmere Y'abayala Etuuse mu Bitundu Ebyakosebwa

0
848

Ttani z’emmere eyakawunga ebikumi 400 n’ebijanjalo ensawo 120 ebibalirirwamu obuwumbi bwa Uganda busatu n’obukadde lukaaga zezitwaliddwa mu district y’e Kamuli ne Kalungu okuyamba abeeyo ababadde batandise okutondoka olw’enjala gwomuwadde akatebe. Obuyambi buno okutwalibwa eyo, nga wofiisi ya Ssabaminista kyejje eyambeko n’abali mu district y’e Isingiro, e Rakai, Soroti, Katakwi ne Bukomansimbi ssabiiti ewedde. Gavumenti bwetyo elabudde bannayuganda ku njala egenda okweyongera era neekutira buli omu okwesiba ebbiri.