Emmundu Eziwera Zikumiddwako Omuliro

0
765

Eggye ly’eggwanga UPDF lisaanyizzaawo emmundu ezisoba mu 6000 ezibadde mu mikono emikyamu. Emmundu ezo zizze zikungaanyizibwa okuva mu bikwekweto ebibadde bikolebwa okumala emyaka 4, mu bitundu by’eggwanga eby’njawulo.
Baziteekedde omuliro zonna ne ziteta, ng’ezisinga obungi baaziggya Karamoja, Kasese, Arua, Kampala n’awalala.