Enkulungo Ya "Fair Way" Eneetera Okuggwa – Musisi

0
1062

Ekitongole kya KCCA kirangiridde nti enkulungo y’oku Fairway ku luguudo lwa Yusuf Lule yaakuggyibwako engalo ku ntandikwa y’omwaka ogujja.
Enkulungo eno ewezezza omwaka mulamba ng’ekolebwa naye w’etuuse ebadde etandise n’okubuzaabuza abagoba b’ebidduka, nga tebategeera luguudo lwa kuvugiramu.
Nnankulu wa Kampala Jennifer Musisi akakasizza nti oluguudo lwakuggwa mu Jan 2017.