Famire ya Akena Yaakuziikula Omufu Ssinga Ekituufu Tekizuulibwa

0
965

Ab’oluganda lw’omugenzi Kenneth Akena eyattiddwa ku nkomelero ya sabiti ewedde e Lugogo bakutte wansi ne waggulu, gavumenti bagiwadde nsalessale wa myezi munaana okufulumya alipoota ku muntu eyasse omuntu waabwe , akwatibwe n’okuvunaanibwa avunaanibwe.
Bano baweze nti ssinga gavumenti kino kigirema, baakuziikula omulambo bbo bakole okunonyereza okwabwe n’ensonga bazongereyo.
Eby’okufa kwa Akena bikyali matankane, waliwo ebiyitingana nti omusajja omu ayitibwa Mathew Kanyamunyu yamukubye amasasi oluvannyuma lw’okukolobola mmotoka ye, kyokka byonna bikyali bya mbu.