Kadaga Alumbye Museveni ku Kuggala Makerere

0
1196

Sipiika wa paalimenti omukyala Rebecca Kadaga anenyezza nnyo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okuggala Makerere university nga tasoose kwebuuza ku bakulu abakwatibwako, n’ekivuddemu by’ebizibu ebikosezza abangi.
Kadaga awatali kuluma mu bigambo agambye nti president yaakola ensobi nnene, kubanga okuggalwa kwa Makerere kwe kuleetedde abalwadde okubonaaabonera mu malwaliro naddala wano mu Kampala.