Kamya Alabudde Abavuganya, Mukomye Efujjo

0
947

Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya akangudde ku ddoboozi n’alabula bannabyabufuzi abamala googera nga tebasoose kufumintiriza nti beddeko kuba kamwa kabi, kassa siroga nga.
Minisita Kamya asinzidde mu katale ka USAFI kabadde alambula okulaba engeri gyebayinza okuyambamu abatembeeyi n’alabula ne bannaKampala okukomya okuwuddiisibwa bannabyabufuzi abeenonyeza ebyabwe ate nebakomekkerera nga tebabayambye.