Kamya Awadde Amateeka Eri Ab'obutale

0
685

Minisita wa Kampala Betty Kamya olwaleero asisinkanye abamu ku batembeeyi abaagobwa ku nguudo n’embalaza za Kampala, okusalira awamu amagezi ku mbeera eriwo.
Ensisinkano eno eyeetabiddwaamu n’abamu ku bakungu ba KCCA, mw’asinzidde n’ayisa ekiragiro nti abali mu butali nga bekwata emidaala egisukka mu gumu, bateekeddwa okusigaza omudaala gumu gwokka, bannaabwe bafune we bakolera.