Kato Lubwama Ogusoose Aguwuuse Buva

0
1134

Omubaka akiikirira Rubaga South mu Paalimenti Kato Lubwama essanyu limubuganye omulamuzi Margaret Oguli Oumo bwagobye okusaba kwa Habib eyawawaabira Lubwama wabula nga yali ayagala ne Ssettendekero wa Makerere egattibwe ku Kato Lubwama bavunaanibwe lumu ku bitabo by’omubaka ebiriko akabuuza.
Omulamuzi mu nsala ye akirabye nti tekigwanidde kugatta Makerere mu musango guno era nagwongezaayo okutuuka nga 7 ye wiiki eggya, okutandika okuwulira oba ddala Kato Lubwama agwanidde okukiika mu paalimenti era nga n’akakiiko k’ebyokulonda lwekaneewozako.