Major Kiggundu Attiddwa mu Bukambye

0
1334

Wabaddewo okwaziraana, n’okweziribanga e Masanafu wano mu gombolola ye Lubaga, omu kubakulembeeze b’obusiraamu Seeka Maj Muhammad Kiggundu bwakubiddwa amasasi agamugye mu bulamu bwensi eno.
Maj Kiggundu nga yabadde bba wa Sophia Namutebi abasinga gwebamanyi nga Maama Phina atiddwa wamu n’omukuumi we Sgt Edward Mukasa, era ababasse babadde batambulira ku Pikipiki bbiri nga baali mu byambalo biddugavu.