Minisita Awolerezza Eddwaliro Ly'e Kawempe

0
1132

Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Sarah Opendi asambazze ebiyitingana nti amabujje gafa kirindi mu ddwaaliro ery’e Kawempe. Alipoota zigamba nti okuva abayizi abakyasoma obusawo lwe baayimiriza emirimu gyabwe nga Makerere aggaddwa, obujjanjabi butono mu malwaliro. Minisita agambye nti mu ddwaaliro e Kawempe abaana tebafa kirindi nga bwe byogerwa, wabula omwana omu yekka y’ayinza okuyitirayo naafa buli lunaku.