Minisita N'omubaka Kata Ebifuba Bibabugume Lwa Mulago

0
1201

Gavumenti yandiwalirizibwa okuyita abasawo abakugu abaawummula badde ku mirimu, olw’embeera y’ebyobujjanjabi embi eri mu malwaliro ga gavumenti ensangi zino. Embeera eno etabudde n’abanene mu gavumenti era kabuze kata bibabugume. Kalunsambulira avudde ku alipoota ya minisita omubeezi ow’ebyobulamu Sarah Opendi, abadde alambika embeera bw’eyimiridde mu malwaliro ababaka gye bagambye nti ya bulimba.