Museveni Aboggoledde Ab'ee Makerere

0
499

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akangudde ku ddoboozi nalagira abasomesa b’e Makerere okubaggyako olunderebu, bakome okussa eggwanga ku bunkenke olw’obusonga obutono obusobola okugonjolwa awatali kwekalakaasa wadde okusiba emirimu.
Pulezidenti okukaawa bwati asinzidde mu district y’e Nakaseke mu kafubo kabaddemu ne bannamawulire nawera nga bwagenda okukozesa omukono ogwekyuuma eri abo abaleese empisa encuucufu mu ssettendekero omukulu mu ggwanga owa Makerere.
Kyokka asuubizza nti ensonga zaabwe zikolwako era amangu ddala, gavumenti yakubategeeza weyimiridde kyokka nga bateekwa okubeera abaguminkiriza newankubadde babanja.