Museveni Asindise Abakugu Bataganjule Makerere

0
783

Olwaleero Pulezidenti Museveni awandiikidde Kyansala wa Yunivaasite y’e Makerere ebbaluwa mwalondedde akakiiko ak’enjawulo okugenda e Makerere okutandika okunonyereza ku nsonga zaayo. Mungeri y’emu Poliisi eriko omuyizi w’e Makerere gwegombyemu obwala ng’ono ne banne babadde bali mu lukwe lwa kwesiba njegere ku wankaako wa ssettendekero ono okulaga okunyolwa kwabwe olwa Yunivaasite okuggalwa nga negyebuli eno tebamanyi ddi lwaliggulwa.