Olunaku Lw'amakolero Lukuziddwa

0
1034

Eby’enfuna bya Uganda bikyesigamye nnyo ku kulima, eby’amakolero bikyali wansi nnyo nga n’olwekyo eby’amaguzi Uganda by’etunda ebunaayira bikyabalirwa ku ngalo. Minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero Ann Amelia Kyambadde agambye nti bannamakolero ba kuno obuzibu bwe balina y’enkola ey’obwa nnaaasiwa mu kange, tebafuddeeyo kwegatta bafune obuyambi mu gavumenti.