Omumbere Agguddwako Gw'obutemu

0
1669

Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere Irimangoma leero asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Jinja naavunanibwa omusango gw’obutemu.
Omumbere alabiseeko mu kkooti e Jinja olweggulo lwa leero mu kkooti esooka ey’omulamuzi John Francis Kaggwa era nga takkiriziddwa kwewozaako bwatyo nasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 13 omwezi ogujja.