Oulanyah Ayatulidde Bannamawulire

0
1171

Amyuka sipiika wa palaamenti Jacob Oulanya agugumbudde bannamawulire ne bannabyabufuzi abanenya palaamenti nti terina kyekoze ku byenfuna byegwanga ebidobonkana enkya n’eggulo.
Nga ayogerera mulukungana olubadde olwokukubaganya ebirowoozo olwomulundi ogwokubiri olumanyiddwa nga Press plenary luno nga lutegekebwa bannamawulire abasaka aga paliyamenti, Oulanya mwasinzidde nalumba abamawulire abavumilila gavumenti eri abagabirizi b’obuyambi kyagamba nti kikoseza nnyo ebyenfuna bya Uganda.