Poliisi e Kasese Ezimu Zirekeddwa Ttayo

0
812

Abantu b’omu district y’e Kasese ennaku zino basula bakukunadde nga lumonde mu bikata oluvannyuma lw’abaserikale abamu okwabulira poliisi ezimu mu kitundu olw’okutya okubakolako obulumbaganyi.
Wowulirira bino abantu bali mu kutya nga bagamba nti obumenyi bw’amateeka bwandyeyongera olw’abeebyokwerinda abamu okwabulira ekitundu okuva lwebakolwako obulumbaganyi okuva ku nkomelero ya wiiki ewedde.
Omusasi waffe atuuseko ku bitebe bya poliisi ebimu ebyayabuliddwa abaserikale era n’ayogerako n’abatuuze nga bano bamutegeezezza ga bwebali ku bunkenke olw’obutaba na byakwerinda bimala.