Poliisi Ezudde Emmundu e Kabarole

0
921

Okuvaako e Kabarole embeera ezze mu nteeko mu bitundu ebibaddemu ddukadduka, oluvannyuma lwa police okuzuula ezimu ku mmundu kazaalabulwa, n’ebissi abakambwe bye babadde bakozesa.
Amavannyuma agavaayo gagamba nti police ng’eyambibwako amagye beddizza enkambi ba mukwatamundu mwe babadde basinziira okutabangula emirembe, ku kyalo Kamabale ekisangibwa mu gombolola y’e Karangura.
Ekibinja kya ba mukwatammundu abo baazinda ebyalo ebiwerako mu bitundu by’e Kabarole ne Rwenzururu, era bamaze ennaku nga batigomya ebyalo.