RDC Agobeddwa mu Nnyumba Gyapangisa

0
1119

Omumyuka wa RDC ow’e Mbarara agudde ku kyokya, ono akwatiddwa ne bamuggalira nga bamulanze bulyazamaanyi.
OMubaka wa gavumenti ono ayitibwa Moses Nuwagaba bamulumiriza obutasasulira nnyumba gy’apangisa, era ba wannyondo ba kkooti bamukedde nga mmisa n’emmotoka ye ey’omulimu n’eboyebwa. Musajjamukulu ono kitegeerekese nti sente ezimubanjibwa zisoba obukadde 3.