Ssabasajja Asiimye Abataka N'obusolya

0
882

Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abataka abakulu b’ebika olw’enteekateeka amakula gye batandiseewo ey’okulambika bazzukulu babwe ku nnono n’obuwangwa bw’Abaganda.
Omutanda olwaleero alabiseeko eri Obuganda mu lubiri e Mengo, mu musomo ogwategekeddwa abakulu b’ebika by’Abaganda.
Ba Jjajja abakulu b’obusolya olwaleero bategese ekyoto ekisookedde ddala mu bwa kabaka bwa Buganda, ekigendereddwamu okulambika abazzukulu ku by’obuwangwa n’ennono z’Abaganda.