Ssente Z'oluguuddo Lw'e Ntebe Zalinnyisibwa – Babaka

0
680

Abakungu okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku kuzimba enguudo mu ggwanga ekya UNRA basanze akaseera akazibu okunnyonnyola ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola entambula y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka Commissions, State Authority and State Enterprises ku nsaasanya y’omusimbi omuyitirivu ogwabaweebwa okuzimba oluguudo lwa Entebbe Express Highway.
Oluguudo luno olwa kilomita 51 lwatandika okuzimbibwa mu 2011 kyokka nga ne gyebuli eno teluggwa nga olwensobi ezakolebwa nga era lusiibirwa okuddibwamu ekitegeeza nti ensimbi y’omuwi w’omusolo ejja kwetagisa okuluddamu.