Temwesunga Nnyo Mafuta – Museveni

0
1182

President Yoweri Museveni akatemye bannayuganda nti tebasaanye kwesunga mafuta, wabula banyweze kidima kubanga n’ensi ezaakulakulana nga Japan tezaakulira ku mafuta. Museveni abadde ku Serena hotel mu Kampala mu lukungaana olutudde okuteesa ku mafuta ga Uganda olwetabyemu abakugu aba’enjawulo mu kisaawe ky’amafuta. Agambye nti amafuta gano agasuubirwa okutandika okusimwa mu 2020, gajja kuyambako buyambi okusitula eby’enfuna.