Waragi Awereddwa mu Abim

0
620

Ebidomola ebisoba mu 10 ebya waragi bikwatiddwa abakulembeze mu district y’e Abim oluvannyuma lw’etteeka erirobera abasajja okwesiwa amagengere okuyisibwa abakulembeze erudda eyo.
Abasajja b’eno baali baafuuka dda ba ssemugayaavu olw’okukeera nga ku ndeku nebazibya obudde ng’olwo abakyala bebaafuka abaami ewaka anti bebalabirira amaka.