Ab'amasaza Bafunye Obukadde 210

0
1135

Bbanka ya Centenary esse omukago n’obwa Kabaka bwa Buganda ne yeeyama okuwagira empaka z’emipiira gy’amasaza ga Buganda ezitegekebwa buli mwaka. Empaka z’amasaza z’ezimu kw’ezo ezisinga okwettanirwa abantu abangi. Omukago gwe basse gwa myaka 3, era Centenary Bank esoose kussaamu kavu wa bukadde 210.