Kayihura Agaanye Okulanbikako ku Paalimenti Kubyali e Kasese

0
1094

Ssaabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura nate akubye paalimenti ekimmooni, abadde asuubirwa mu kakiiko akavunanyizibwa ku by’okwerinda by’eggwanga annyonnyole ku kulwanagana kw’e Kasese, bakanze kumulindirira nga buteerere.
Ababaka era batabuddwa, olw’ensonga nti n’abakungu abazze tebabadde balambulukufu, bakira obwedda ekibabuuzibwa ate nga bajuliza mukama wabwe ow’oku ntikko.
Ye nno minisita omubeezi ow’ebyokwerinda Col.Okello Engola, atuuse n’okugaanira ebiwandiiko ebibadde byetaagibwa ku nsonga z’e Kasese.