Abaana Abawala Tebalina Bikozesebwa e Soroti

0
1189

Abakulembeze mu district ye Soroti bawanjaga olw’omuwendo gw’abaana ab’obuwala abeebulankanya mu masomero okweyongera nga kino kiva ku baana bano abali mu myaka egigenda mu nsonga kyokka nga tebasobola kwetuusako bikozesebwa mu mbeera eno.
Kino abaana ab’obuwala kibamalako emirembe era tebeetaya bulungi nga bali ku masomero nga kale okwebulankanya okutuusa lwebatereera kyekisingako.
Wabula embeera eno enogeddwa eddagala nga bannakyewa basazeewo bakwatire wamu n’abakulembeze mu district okuwa abaana ab’obuwala ebikozsesbwa mu nsonga ku bwerere nn’okubayigiriza enkozesa yaabyo.