Ababaka ba Paalimenti Batabukidde ba Minisita

0
626

Ababaka ba paalimenti bambalidde beekokkodde nnyo gavumenti olw’okukalndaaliriza okulonda obukiiko bw’ebyalo, nga bagamba nti kyandigotaanya emirimu gya paalimenti.
Olukongoolo balutadde ku minisita w’ebyamateeka Kahinda Otafiire olw’okulemwa okukola ennongoosereza mu tteeka erifuga ennonda ya LC.
Uganda emaze emyaka 16 nga terina nkiiko za byalo, era obukiiko obuliwo olwaleero buliwo mu bumenyi bw’amateeka, naye ekyewunyisa era bukola.