Abannaddiini Basabidde Ab'e Kasese

0
830

Bannadiini leero lwebasabidde abantu b’e Kasese abaafiira mu kulwanagana okwaliyo wiiki ewedde ate n’okusabira ekitundu kino okutereera. Mu kulwanagana okwaliwo wiiki ewedde e Kasese omwaali n’okulumba olubiri lw’Omusinga, abantu abasoba mu nkaaga beebalusuulamu akaba ate abalala bangi balindiridde okusimbibwa mu mbuga z’amateeka.