Abanyarwanda Abajja mu Bukyamu Baziddwayo e Rwanda

0
675

Poliisi e Kabale eriko bannansi okuva mu ggwanga elya Rwanda beekutte nga bano babadde bayingira eggwanga mu bukyamu era bwetyo nebazzayo ewabwe. Abanyarwanda 41 bebakwatiddwa nga basinnganiddwa mu bbaasi edda e Mityana kyokka nga bonna tebabadde na bibogerako wadde ebbaluwa ezibakkiriza okusala ensalo.