Ab'e Kasese Amagezi Gabeesibye, Tebamanyi Kiddako

0
1142

Oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa ku lubiri lw’omusinga okukakana nga bangi batiddwa, abenganda zaabo abafiriddwako abaabwe bali mu kutakula mitwe nga bebuuza kiki kyebagenda kuzaako, anti abasinga kwabo abatiddwa bebabadde bayimirizaawo amaka gaabwe.
Jordan Mubangizi omusasi waffe akyali Kasese atuuseeko mu maka gomu kubafiriddwako abadde abalabirira nawayamu nabo, wabula ennaku gyebamulojedde eyoza lumonde.