Ab'e Kasokoso Babadde Balumbye Museveni

0
1107

Abatuuze b’e Kasokoso ne Bukasa abaalemesebwa okusisinkana sipiika ewiiki ewedde ne leero balemeseddwa okusisinkana omukulembeze w’eggwanga gwebabadde balumbye mu maka ge ag’e Ntebe okumutunuza mu nsonga yaabwe ey’okubagobaganya ku ttaka okugenda okuzimbibwa oluguudo lwa Kampala-Jinja Express Highway. Abatuuze bano ababadde mu bikumi bakedde kukunnganira Ntebe nga baagala okusisinkana Pulezidenti Museveni wabula kino tekisobose