Ab'e Kiruhura Balangidde Aba Bonnabagaggawale

0
1026

Abatuuze mu district y’e Kiruhura n’eziriranyewo bavudde mu mbeera nebalumba abakungu ba gavumenti abakwasibwa ogwokuddukanya enteekateeka ya gavumenti ey’okuggya abantu mu bwavu nga babalanga busosoze n’obulyake.
Abatuuze bagamba nti abakungu bano bwebatuuka okubaako nebyebagaba gamba nga ensimbi n’ebintu ebirala ebiba bigendereddwamu okuggya abantu mu bwavu, ate beekobana n’abagagga bebabiwa olwo nebitatuuka mu bantu abagwanidde okubiganyulwamu.