Ab'e Mubende Balumirizza RDC Okukobaana N'abazigu

0
1037

Abatuuze b’e Mubende bakedde nnawankya okulumba RDC Florence Beyunga ne bamulangira okwekobaana n’ababbi b’ettaka ne babookera amayumba.
Abatuuze bano abasoba 200 bakedde kugumba ku office ya RDC nga bagamba nti yeekobaaana ne police ne bayimbula abasibe abaali bakwatiddwa ku kyokya mayumba.
Lubadde lutalo lwennyini okubagumbulula okuva ku office, kyokka ye RDC abeegaanye.