Bannyini Bafu Balemeddwa Okubaawula

0
834

Abafiirwa abantu baabwe mu kulwanagana okwaali e Kasese e wiiki ewedde basobeddwa olw’okulemererwa okwawula emirambo gyabwe ku gyabalala.
Okusinziira ku beerabiddeko nagaabwe, emirambo egitandise n’okuvunda gyasabikibwa mu buveera era nga gyonna gyateekebwa mu luggya lw’eggwanika ely’eddwaliro ekkulu e Kasese era nga wegituuse kizibu okumanya omuntu wo.
Abatuuze bwebatyo basabye wakiri entaana bwaguuga esimibwe, abafu baziikibwemu kirindi.