DP Evumiridde Poliisi Lwa Mumbere

0
592

Ekibiina kya Democratic Party kivumiridde ekitongole kya Poliisi olw’okuvaayo ne kitegeeza nga bwekigenda okwongera okuggula emisango emirala ku Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere.
DP egamba nti Poliisi tekyalina buyinza bunonyereza wadde okuggula emisango emirala ku Omusinga kubanga nayo ebyali e Kasese yabyenyigiramu butereevu nga kale esaana enonyerezebweko nga Omusinga bwanonyerezebwako.