E Gulu Omusango Gwa Ongwen Bagugoberedde Bulungi

0
1101

Emyaka gyekulungudde kasooka mmundu esiriikiriramu mu bitundu by’obukiikakkono by’eggwanga, ebyataagulwataagulwa olutalo lw’omujeemu Yozefu Kony. Ebitundu ebimu byafuuka matongo, agaali amaka ne gafuuka ebifulukkwa ng’abantu basuzibwa mu nkambi, anti Kony ng’afuuse Kony.
Mu kiseera kino ng’okuwozesa omu ku bajeemu kugenda mu maaso, abantu b’omu bitundu bya Acholi bakyalina ebiwundu ku mitima, era bangi bafunye ennyiike nga balaba omusajja eyabaliisa akakanja.