E Kasensero Siriimu Bamulaba Nga Sennyiga

0
759

Toyinza kwogera ku siliimu mu Uganda n’otogera ku mwalo gw’e Kasensero ogusangibwa mu gombolora y’ e Kyebe mu district ey’ Rakai olwensonga nti omuntu ayesooka okuna era n’okuffa ekilwaade kya siliimu yali wawano ku mwalo guno.
Newankubade nga omwalo guno gwegumu ky’egyo emyalo eminene ddala mu Uganda era nga okusinziira ku nonyereza okwakasembayo okukolebwa ekitongole ekivunanyizibwa ku by’envuba mu Uganda kulaga nti omfwalo guno gwegusinga okuvaako ebyenyanja ebingi okwetolorola eggwanga lyona.