Enkola Ya Poliisi Y'e Rwanda Yeewunyisa

0
496

Bwoyogera ku nsi Rwanda ebimu ku bintu ebisooka okuddukira mu bwongo bw’akuwuliriza by’ebyokwerinda ebinywevu gulugulu era abamu baatuuka n’okulowooza nti mu ggwanga lino gavumenti erondoola n’obwongo bw’omuntu kyebulowooza.
Okufaananako mu mawanga amalala, ne mu Rwanda Poliisi y’ekwasaganya eby’obutebenkevu naddala munda mu ggwanga lino kyokka twebuuza, poliisi yayaayo ekola etya emirimu, okutuuka okulowoozesa abantu nti ebega ne mu byendaby’omuntu.
Munnaffe ali e Kigali Walugembe Josephat alondodde mu bulambulukufu ensonga y’ebyokwerinda naddala ku mirimu gyapoliisi era alipoota ye yeeno