Janet Museveni Atabukidde Abazadde

0
537

Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni avuddemu omwasi ku bazadde abatakyafa ku baana be bazaala, ng’agamba nti be battattanye eby’enjigiriza, abaana ne batuuka n’okubonoonekako ne bafunira embuto ku ssomero.
Minisita abadde Ntungamo ng’atongoza enteekateeka y’okutumbula eby’enjigiriza, n’alabula abazadde abaabulwa ensonyi abafumbiza abaana abatanneetuuka, n’abo abatafaayo kuwa baana kya misana ku ssomero, nti ajja kubasitukiramu era kajja kubajjuutuka.