Kanyamunyu Tannaluba, Azzeeyo e Luzira

0
1220

Mathew Kanyumunyu agambibwa okutta Kenneth Akena ne banne bwe bavunaanibwa bafulumye kkooti y’e Nakawa ng’emimwa gibali mu nnyondo oluvannyuma lw’omulamuzi okugaana okugoba bannawulire mu kkooti.
Nga bayita mu bannamateeka baabwe abawawaabirwa basabye omulamuzi Noah Sajjabbi akugire bannamawulire okuddamu okuyingira mu kkooi kuba babuzaako abawawaabirwa emirembe ekintu omulamuzi kyagaanye.
Ba Kanyamunyu era bwe batyo bazziddwaayo ku mere e Luzira.