Kkooti Efulumizza Ebiragiro Ebikakali ku Musango Gw'abayisiraamu

0
499

Kkooti enkulu ewozesa egya nnaggomola eriko ebiragiro ebiggya by’ewadde bannamawulire abagoberera omusango gw’obutemu, oguvunaanibwa Abayisiraamu be balumiriza okutta abakulembeze b’obusiraamu.
Mu bukwakkulizo buno, bannamawulire tebakyakkirizibwa kulaga bifaananyi by’abalamuzi wadde eby’abajulizi ababa baleeteddwa mu kkooti. Omulamuzi Ezeikel Muhanguzi agamba nti okulaga ebifaananyi ebyo kissa obulamu bwabwe n’obwa bajulizi mu matigga.