Makerere Yeesamudde Besigye ne Banne.

0
834

Bo abasomesa ku ssetendekero e Makerere besamudde Dr Kiiza Besigye nebanne nga bagamba nti obuyambi bwabwe tebabwetaaga.
Olwagyo enkalu zanonyeza obukongovule nga Poliisi ekwata ab’oludda oluvuganya abagenze ku kasozi e Makerere nga bakakatanye n’ebintu ebitali bimu,mbu bagenda kusonda zakugulawo Makerere, okukakana nga bangi bakwatiddwa.
Kakati abasomesa bagamba nti bano bagye ebyobufuzi mu nsonga zaabwe kuba kyebaliko nsonga gyebatagalamu byabufuzi.