Minisita Among Asazizzaamu Ebyapa Ebiwera e Ssembabule

0
530

Minisiter w’ettaka n’amayumba Betty Amongi asinzidde Ssembabule n’asazaamu ekyapa ky’ettaka elikaayanirwa abatuuze abasoba mu bikumi ebisatu ne nnaggaga.
Minister Amongi asinzidde eno okugonjoola enkaayana z’ettaka ezifumbekedde mu district y’e Sembabule n’asuubiza nga bwagenda okukola ekisoboka okuleetawo amazima n’obwenkanya n’okumalawo okulwanagana mu bantu olw’ettaka.