Mmengo ne UNRA Bateesezza ku Nsasula

0
751

Ekitongole ekirabirira enguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority kitinyetinye nekigenda ku Bulange e Mengo okuteesa n’abakungu b’ekitongole ky’obwa Kabaka eky’ettaka ku nsonga z’ettaka ly’okuluguudo lw’e Jinja ewagenda okuzimbibwa oluguudo oluggya. Bano bagamba nti ekibatutte e Mengo kwekukkanya ne Buganda kubanga yeesingako ettaka eringi mu kitundu ewagenda okuyita ekkubo.