Olubiri Lugguddwawo e Kasese, Bayiikula Mpuku

0
840

Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amagye nga biyambibwako Obusinga bwa Rwenzururu bitandise okuziikula empuku n’emikutu egiri munda mu Lubiri okusobola okununula abantu abalowoozebwa okuba nti bakyekweeseyo.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti abantu abamu abeekwese mu mpuku zino n’emikutu baakubidde abenganda zaabwe essimu nga babasaba okuyambibwa nga batya nti ssinga bamala gavaayo batyo, bayinza okuttibwa.