Omusinga Avunaaniddwa Emisango Emirala 41

0
992

Enkya ya leero Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere azziddwayo mu kkooti e Jinja ye n’abambowa kko n’abagoberezi be gyebavunaniddwa emisango 41 okuli ogw’obutujju, ogw’okulya mu nsi yaabwe olukwe, ogw’obutemu, ogw’okugezaako okutta n’emirala mingi.
Bano oluvannyuma lw’okusomerwa emisango gyabwe omulamuzi n’alagira bazzibweyo ku alimanda mu makomera agenjawulo okuli ely’e Kirinya, Bugungu n’e Luzira era nga e Luzira Omusinga naye gyasindikiddwa okugira nga abeerayo okutuusa lwaliddamu okulabikako mu kkooti. Wabula bano bonna emisango bagyeganye