Omusinga Bamuggudeko Emisango Emira Kumi

0
933

Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere enkya ya leero akomezeddwawo mu kkooti e Jinja era nayongerwa okusomerwa emisango emirala 10 okubadde ogw’obutujju, ogw’okutta abantu n’ogwobubbi. Omusinga aleeteddwa mu kkooti wakati mu byokwerinda ebibadde ebinywevu mu kkooti ebadde ekubyeko obugule. Mu babaddeyo ne munna FDC Dr Kizza Besigye talutumidde mwana kyokka nga ono takkiriziddwa kuyingira mu kkooti era Poliisi emukomezzawo wakati mu kanyolagano.