Omuwendo Gw'abalwadde Gubasusseeko

0
722

Sentebe wa Disitulikiti ye Mukono Andrew Ssenyongo nabakulira eddwaliro lya St Francis Nagalama bawanjagidde minisitule ye byobulamu eyongere ku mutemwa gwe nsimbi oguweebwa eddwaliro lino lisobole okujjanjaba abalwadde abangi abaligendamu.
Bagamba nti mu kiseera kino nga gavumenti ekyalemereddwa okufunira disitulikiti ye mukono eddwaliro eddene ate ng’a balwadde bangi, lyetaaga okuyamba lisobole okukola obulungi omulimu gwalyo.